Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu. |
| 2 |
| Abaana abato n’abawere wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo n’oyo ayagala okwesasuza. |
| 3 |
| Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye watonda; |
| 4 |
| omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo? |
| 5 |
| Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda; n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa. |
| 6 |
| Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo: byonna wabissa wansi w’ebigere bye, |
| 7 |
| ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko, |
| 8 |
| n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyennyanja eby’omu nnyanja; era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja. |
| 9 |
| Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/008.mp3
150
8