EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu. |
| 2 |
| Liyimbibwa abaana abato n'abayonka. Oziyiza abalabe, N'abo abagala okukola obubi bannaabwe. |
| 3 |
| Bwe ntunuulira eggulu lye wakola, Omwezi n'emmunyeenye, bye wateekawo, |
| 4 |
| Omuntu kye kiki, ggwe okumulowoozako? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumufaako? |
| 5 |
| Kubanga wamukola, n'abulako akatono okuba nga ggwe Katonda. Era wamutikkira engule ey'ekitiibwa n'ettendo. |
| 6 |
| Wamuwa okufuga ebintu byonna bye wakola. Wateeka ebintu byonna mu buyinza bwe: |
| 7 |
| Endiga zonna n'ente, Era n'ensolo ez'omu nsiko. |
| 8 |
| Ennyonyi ez'omu bbanga, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja. N'ebitonde ebirala ebiri mu nnyanja. |
| 9 |
| Ayi Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/008.mp3
150
8