Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Omusumba alunda Yisirayeli, wulira, ggwe akulembera Yosefu ng'eggana ly'endiga, ggwe atuula wakati wa bakerubi. |
| 2 |
| Weeyoleke Efurayimu ne Benyamiini ne Manasse. Situka n'amaanyi go ojje otulokole. |
| 3 |
| Ggwe tuzze mu nteeko, ayi Katonda, tulage ekisa kyo, otulokole. |
| 4 |
| Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, olituusa wa okusunguwalira okwegayirira kw'abantu bo? |
| 5 |
| Otugabula maziga ng'emmere yaffe, era g'otuwa mu bungi tunywe. |
| 6 |
| Otuleka ne tuyombagana ne baliraanwa baffe, abalabe baffe ne beesekera. |
| 7 |
| Ggwe tuzze mu nteeko, ayi Katonda Nnannyinimagye, tulage ekisa tulokoke. |
| 8 |
| Ggwe waggya omuzabbibu e Misiri, ab'amawanga amalala n'obagoba mu nsi yaabwe, n'ogusimbamu, ne gubuna ensi eyo. |
| 9 |
| Wagulimirira, ne gusimba nnyo emirandira. |
| 10 |
| Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi, amatabi gaagwo ne gabikka emivule emiwanvu. |
| 11 |
| Gaalanda okutuuka ku nnyanja, n'okutuuka ku Mugga Ewufuraate. |
| 12 |
| Wamenyera ki enkomera ezigwetoolodde? Kaakati bonna abayitawo beenogera ebibala byagwo! |
| 13 |
| Embizzi ez'omu ttale zigulinnyirira, n'ebisolo byonna eby'omu nsiko bigwonoona. |
| 14 |
| Ayi Katonda Nnannyinimagye, kyuka otunuleko wansi ng'osinziira mu ggulu, olabe era oggyire omuzabbibu gwo ogwo, |
| 15 |
| ggwe wennyini gwe wasimba, n'ogukuza nga gwa maanyi. |
| 16 |
| Abalabe bagwokezza omuliro ne bagutemawo. Batunuulize bukambwe, obazikirize. |
| 17 |
| Kuuma otaase abantu be walonda babe babo, eggwanga lye wafuula ery'amaanyi. |
| 18 |
| Tetukyaddamu kukuvaako, tukuume nga tuli balamu, olwo tunaakutenderezanga. |
| 19 |
| Ggwe tuzze mu nteeko, ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, tulage ekisa kyo tulokoke. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/080.mp3
150
80