×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 80

1
Eri omuyimbisa. Lugenda nga 'Sosanimu Eduti'. Lwa Asafu. Zabbuli.
2
Ayi Musumba wa Yisirayeli, tegereza; ggwe afulumya Yozefu ng'eggana, awaŋŋamye wakati mu bakerubi, tangalijja
3
mu maaso ga Efurayimu, Benyamiini ne Manasse. Kakamula obuyinza bwo, ojje otulokole.
4
Ayi Katonda, tuzzeewo, twakize amaaso go tulokolebwe.
5
Ayi Mukama Katonda w'Amagye, obusungu bwo bunaatuusa wa okuttunkira essaala y'abantu bo?
6
Obaliisizza omugaati gw'amaziga; obanywesezza ensuwa n'ensuwa z'amaziga.
7
Watufuula eky'okusekerera mu baliraanwa baffe; abalabe baffe batukudaalira.
8
Ayi Katonda w'Amagye, tuzzeewo, twakize amaaso go tulokolebwe.
9
Waleeta omuzabbibu okuva mu Misiri; wagobawo amawanga n'ogusimba.
10
Wagwerulirawo ekifo; gwasimba emirandira ne gujjuza ensi.
11
Ensozi zaabikkibwa ekisiikirize kyagwo, n'amatabi gaagwo ne gabikka entolookyo ez'ekitiibwa.
12
Gwayagaagaza amatabi gaagwo okutuuka ku Nnyanja, n'emirandira gyagwo okutuuka ku Mugga.
13
Lwaki wamenyawo olukomera lwagwo, bonna abayita mu kkubo ne beenogera?
14
Engiri y'omu kibira yaguzikiriza, n'ebisolo eby'ettale ne bigulya.
15
Ayi Katonda w'Amagye, kyuka; tunula ng'oyima mu ggulu olabe, lambula omuzabbibu guno,
16
ekikolo ddyo wo kye yasimba, omwana wo gwe weekuliza.
17
Baagwokya n'omuliro, baagutema, abo bazikirire n'olukomako lw'amaaso go.
18
Omukono gwo gubeere ku musajja ali ku ddyo wo; ku mwana w'omuntu gwe weekuliza.
19
Olwo tetugenda kukuvaako nate. Tuzzeemu obulamu, tulikoowoola erinnya lyo.
20
Ayi Katonda w'Amagye, tuzzeewo, twakize amaaso go tulokolebwe.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes