EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Omusumba wa Isiraeri, wulira, Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng'ekisibo; Ggwe atuula wakati wa bakerubi, twakire. |
| 2 |
| Amaanyi go galabike mu Efulayimu ne Benyamini ne Manase, Ojje otulokole. |
| 3 |
| Tukomyewo gy'oli, Ayi Katonda; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka. |
| 4 |
| Ayi Mukama Katonda ow'eggye, Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw'abantu bo? |
| 5 |
| Wabaliisa emmere ey'amaziga, Era wabawa amaziga amangi okunywa. |
| 6 |
| Otufudde eky'okusekererwa eri baliraanwa baffe; N'abalabe baffe baseka bokka na bokka. |
| 7 |
| Tukomyewo gy'oli, Ayi Katonda ow'eggye; Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka. |
| 8 |
| Waggya omuzabbibu mu Misiri, Wagobamu amawanga, n'ogusimba. |
| 9 |
| Wasaawa mu maaso gaagwo, Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi. |
| 10 |
| Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo, N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emivule gya Katonda. |
| 11 |
| Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja N'ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga. |
| 12 |
| Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako? |
| 13 |
| Embizzi ez'omu kibira zigwonoona, N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako. |
| 14 |
| Tukyukire nate, tukwegayiridde, Ayi Katonda ow'eggye; Otunuulire wansi ng'oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo, |
| 15 |
| N'ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba, N'ettabi lye weekolera ery'amaanyi. |
| 16 |
| Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala: Bazikirira amaaso go bwe gabanenya. |
| 17 |
| Omukono gwo gube ku musajja ow'omukono gwo ogwa ddyo, Ku mwana w'omuntu gwe weekolera ow'amaanyi. |
| 18 |
| Naffe tuleme okudda emabega okukuvaako. Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo. |
| 19 |
| Tukomyewo gy'oli, Ayi Mukama Katonda ow'eggye; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/080.mp3
150
80