Luganda Bible
|
| 1 |
| Muyimbirenga waggulu Katonda amaanyi gaffe: Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo. |
| 2 |
| Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa, Ennanga ennungi era n'amadinda. |
| 3 |
| Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke, Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga. |
| 4 |
| Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri, Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo. |
| 5 |
| Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa, Bwe yabuna ensi y'e Misiri: Gye nnawuulira olulimi lwe ssaamanya. |
| 6 |
| N'aggya ekibegabega kye ku mugugu; Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo. |
| 7 |
| Wakoowoola bwe wali mu nnaku, nange ne nkuwonya; Ne nkuddiramu mu kifo eky'ekyama eky'okubwatuka: Nakukemera ku mazzi ag'e Meriba. (Seera) |
| 8 |
| Muwulire, mmwe abantu bange, nange naabategeeza: Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira! |
| 9 |
| Temuubenga katonda munnaggwanga mu ggwe; So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna. |
| 10 |
| Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri: Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza. |
| 11 |
| Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange; So Isiraeri teyanjagala n'akatono. |
| 12 |
| Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo. |
| 13 |
| Singa abantu bange bakkiriza okumpulira, Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange! |
| 14 |
| Nandiwangudde mangu abalabe baabwe, Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo. |
| 15 |
| Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde: Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna. |
| 16 |
| Era yandibaliisizza n'obugimu obw'eŋŋaano: Era nandikukkusizza n'omubisi gw'enjuki oguva mu jjinja. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/081.mp3
150
81