×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 81

1
Katonda atuwa amaanyi mumuyimbire nnyo, muyimbire Katonda wa Yakobo nga musanyuka.
2
Mukoleeze oluyimba, mukube ensaasi, mukube ennanga ennungi n'amadinda.
3
Mufuuwe eŋŋombe ng'omwezi kye gujje guboneke. Mufuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw'embaga yaffe.
4
Eryo lye tteeka mu Yisirayeli, kiragiro kya Katonda wa Yakobo.
5
Yakiragira Yosefu, bwe yalumba ensi y'e Misiri. Nawulira eddoboozi lye simanyi nti:
6
“Nabatikkula omugugu, ne mbawonya okusitula obusero.
7
Bwe mwali mu buyinike obungi, mwankoowoola ne mbawonya. Nabaddamu nga nneekwese mu kubwatuka kw'eggulu. Nabagereza ku mazzi g'e Meriba.
8
“Abantu bange, muwulire mbabuulirira. Yisirayeli, singa okkiriza n'ompulira!
9
Mu mmwe temuubenga na mulala gwe musinza wabula nze Katonda.
10
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Mwasamye akamwa kammwe, nja kukajjuza.
11
“Naye abantu bange tebampulira, Yisirayeli teyanneewa.
12
Nange nabaleka gye baalemera, bagoberere bye baayagala.
13
Singa nno abantu bange kale baawuliriza kye ŋŋamba! Singa Yisirayeli akola bye ndagira!
14
Nandyanguye okubawonya abalabe, n'okuwangula ababawalanya.
15
“Nandijeemuludde abankyawa, ne batabonerezebwa ennaku zonna.
16
Nandibagabudde mmwe eŋŋaano ennungi n'omubisi gw'enjuki ogw'omu ttale.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes