Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe; muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo! |
| 2 |
| Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli. |
| 3 |
| Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka, era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe. |
| 4 |
| Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri, lye tteeka lya Katonda wa Yakobo. |
| 5 |
| Yaliteekera Yusufu, Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri; gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera. |
| 6 |
| “Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye; n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero. |
| 7 |
| Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya, nabaanukulira mu kubwatuka mu kire; ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba. |
| 8 |
| Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula. Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri! |
| 9 |
| Temubeeranga na katonda mulala, wadde okuvuunamira katonda omulala yenna. |
| 10 |
| Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri. Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza. |
| 11 |
| “Naye abantu bange tebampuliriza; Isirayiri teyaŋŋondera. |
| 12 |
| Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe, okugoberera ebyo bye baagala. |
| 13 |
| “Singa abantu bange bampuliriza; singa Isirayiri agondera ebiragiro byange, |
| 14 |
| mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe, ne mbawangula. |
| 15 |
| Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali; ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna. |
| 16 |
| Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi, ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/081.mp3
150
81