Luganda Bible
|
| 1 |
| Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda; Asala emisango mu bakatonda. |
| 2 |
| Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi? (Seera) |
| 3 |
| Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe: Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu. |
| 4 |
| Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga: Mubalokolenga mu mukono gw'omubi. |
| 5 |
| Tebamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza: Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana. |
| 6 |
| Nayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo. |
| 7 |
| Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira. |
| 8 |
| Golokoka, ai Katonda, osalire ensi omusango: Kubanga olisikira amawanga gonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/082.mp3
150
82