×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 82

1
Katonda ye akulira olukiiko olw'omu ggulu, n'asala emisango mu balubaale nti:
2
“Mulituusa wa okusala emisango awatali mazima, n'okwekubiira ku ludda lw'ababi?
3
Musalirenga abaavu ne bamulekwa baweebwenga ebyabwe ebibasaanidde.
4
Mubeerenga ba mazima eri abeetaaga n'abateeyamba. Mubawonyenga obuyinza bw'ababi.
5
“Temuliiko kye mumanyi, temutegeera mmwe. Mu nzikiza mwe mutambulira, mumazeewo obwenkanya mu nsi.
6
Nagamba nti: ‘Muli balubaale mmwe, mwenna muli baana ba Atenkanika.’
7
Naye mulifa ng'abantu, muggweewo ng'abantu, muggweewo ng'abalangira abalala.”
8
Jjangu ayi Katonda, osalire ensi omusango, kubanga amawanga gonna gago.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes