Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu, ng’alamula bakatonda. |
| 2 |
| Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa, nga musalira abanafu? |
| 3 |
| Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya. |
| 4 |
| Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi. |
| 5 |
| Tebalina kye bamanyi, era tebategeera. Batambulira mu kizikiza; emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa. |
| 6 |
| Njogedde nti, Muli bakatonda, era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. |
| 7 |
| “Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu; muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.” |
| 8 |
| Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi; kubanga amawanga gonna gago. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/082.mp3
150
82