×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 82

1
Katonda ayimirira mu lukiiko olutukuvu, Asala emisango mu bakatonda.
2
Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi?
3
Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe; Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.
4
Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga, Mubalokolenga mu mukono gw'omubi.
5
Tebaamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza. Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana.
6
N'ayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo.
7
Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira.
8
Golokoka, Ayi Katonda, osalire ensi omusango, Kubanga amawanga gonna gago.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes