×

Luganda Bible

Zabbuli 83

1
Ai Katonda, tosirika nate: Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda.
2
Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana: N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe.
3
Basala enkwe ku bantu bo, Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke.
4
Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.
5
Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu; Balagaana endagaano ku ggwe:
6
Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri; Mowaabu, n'Abakagale;
7
Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo:
8
Era n'Obwasuli bwegasse nabo; Bayambye abaana ba Lutti. (Seera)
9
Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
10
Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
11
Abakungu baabwe obafaananye nga Olebu ne Zeebu; Weewaawo, abalangira baabwe bonna nga Zeba ne Zalumunna:
12
Abaayogera nti Twetwalire fekka Ennyumba za Katonda tuzirye.
13
Ai Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu; Ng'ebisasiro empewo bye zitwala.
14
Ng'omuliro ogwokya ekibira, Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi;
15
Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo, Era obatiise n'empewo zo.
16
Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira; Banoonyenga erinnya lyo, ai Mukama.
17
Bakwatibwenga ensonyi, batyenga ennaku zonna; Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga:
18
Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes