Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Katonda tosirika busirisi, wadde okubeera awo, ayi Katonda, nga toliiko ky'ofaayo. |
| 2 |
| Kubanga abalabe bo baabano beediimye, n'abakukyawa bajagaladde. |
| 3 |
| Basalira abantu bo enkwe. Bateesa okukola akabi ku bantu bo b'okuuma. |
| 4 |
| Bagamba nti: “Mujje, tubazikirize, balemenga okuba eggwanga, erinnya Yisirayeli lyerabirwe!” |
| 5 |
| Bateesa ne bakkaanya ne balagaana okukukolako akabi: |
| 6 |
| Aba Edomu n'aba Yisimayeli, ab'e Mowaabu n'Abakaguri, |
| 7 |
| ab'e Gabali ne Ammoni, ab'e Amaleki, Filistiya ne Tiiro. |
| 8 |
| Era ne Assiriya yeegasse nabo, bayambe abazzukulu ba Looti. |
| 9 |
| Ggwe bakole kye wakola Abamidiyaani ne Sisera ne Yabini ku Mugga Kisoni, |
| 10 |
| abaazikirizibwa mu Endori ne bafuuka ng'obusa ku ttaka. |
| 11 |
| Abakungu baabwe obafuule nga Horebu ne Zeebu. Abalangira baabwe babe nga Zeba ne Zalumunna, |
| 12 |
| abaagamba nti: “Twetwalire ensi ya Katonda ebeere yaffe.” |
| 13 |
| Ayi Katonda wange, bafuule ng'enfuufu ey'akazimu, ng'ebisasiro embuyaga by'etwala. |
| 14 |
| Ng'omuliro bwe gwokya ekibira, n'ennimi zaagwo nga bwe zookya ensozi, |
| 15 |
| bagobaganye bw'otyo ne kibuyaga wo, obatiise n'embuyaga zo ez'amaanyi. |
| 16 |
| Ayi Mukama, ggwe bajjuze okwebwalabwala, obakkirizise obuyinza bwo. |
| 17 |
| Bakwatibwenga ensonyi, era batyenga bulijjo, bazikirire nga baswadde. |
| 18 |
| Balyoke bamanye nti ggwe Mukama wekka, Omufuzi w'ensi zonna Atenkanika. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/083.mp3
150
83