Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego. Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola. |
| 2 |
| Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo; abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo. |
| 3 |
| Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo; basalira enkwe abo b’oyagala ennyo. |
| 4 |
| Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize, n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!” |
| 5 |
| Basala olukwe n’omwoyo gumu; beegasse wamu bakulwanyise. |
| 6 |
| Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri, n’eza Mowaabu, n’Abakagale; |
| 7 |
| Gebali ne Amoni, ne Amaleki, n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo. |
| 8 |
| Era ne Asiriya yeegasse nabo, okuyamba bazzukulu ba Lutti. |
| 9 |
| Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani, era nga bwe wakola Sisera ne Yabini ku mugga Kisoni, |
| 10 |
| abaazikiririra mu Endoli ne bafuuka ng’obusa ku ttaka. |
| 11 |
| Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu, n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna, |
| 12 |
| abaagamba nti, “Ka tutwale amalundiro ga Katonda, tugeefunire.” |
| 13 |
| Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu, obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga. |
| 14 |
| Ng’omuliro bwe gwokya ekibira; n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi, |
| 15 |
| naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo, obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi. |
| 16 |
| Baswaze nnyo, balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama. |
| 17 |
| Bajjule ensonyi n’okutya, bazikirire nga baswadde nnyo. |
| 18 |
| Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA, gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/083.mp3
150
83