EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Katonda, tosirika nate. Toleka kwogera, n'otobaako ky'okola, Ayi Katonda. |
| 2 |
| Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana, N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe. |
| 3 |
| Basala enkwe ku bantu bo, Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke. |
| 4 |
| Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate. |
| 5 |
| Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu; Balagaana endagaano ku ggwe: |
| 6 |
| Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri; Mowaabu, n'Abakagale; |
| 7 |
| Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo, |
| 8 |
| Era n'Obwasuli bwe gasse nabo; Bayambye abaana ba Lutti. |
| 9 |
| Obakole nga bwe wakola Midiyaani; Nga bwewakola Sisera, ne Yabini, ku mugga Kisoni; |
| 10 |
| Abaazikiririra e Endoli; Ne bafuuka ng'obusa ku ttaka. |
| 11 |
| Abakungu baabwe obafaananye nga Olebu ne Zeebu; Weewaawo, abalangira baabwe bonna nga Zeba ne Zalumunna: |
| 12 |
| Abaayogera nti, “Twetwalire fekka amalundiro ga Katonda gabeere gaffe,” |
| 13 |
| Ayi Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu; Ng'ebisasiro empewo bye zitwala. |
| 14 |
| Ng'omuliro ogwokya ekibira, Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi; |
| 15 |
| Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo, Era obatiise n'empewo zo. |
| 16 |
| Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira; Banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama. |
| 17 |
| Bakwatibwenga ensonyi, batyenga ennaku zonna; Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga: |
| 18 |
| Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/083.mp3
150
83