Luganda Bible
|
| 1 |
| Eweema zo nga nnungi, Ai Mukama ow'eggye. |
| 2 |
| Emmeeme yange yeegomba, era ezirise olw'empya za Mukama; Omutima gwange n'omubiri gwange bikaabira Katonda omulamu. |
| 3 |
| Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba, N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako, Bye byoto byo, ai Mukama ow'eggye, Kabaka wange, era Katonda wange. |
| 4 |
| Balina omukisa abatuula mu nnyumba yo: Banaakutenderezanga. (Seera) |
| 5 |
| Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe; Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe. |
| 6 |
| Nga bayita mu kiwonvu eky'amaziga bakifuula ekifo eky'ensulo; Weewaawo, ddumbi akibikkako n'omukisa. |
| 7 |
| Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi, Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni. |
| 8 |
| Ai Mukama Katonda ow'eggye, wulira okusaba kwange: Otege okutu, ai Katonda wa Yakobo. (Seera) |
| 9 |
| Tunula, ai Katonda engabo yaffe, Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta. |
| 10 |
| Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez'obubi. |
| 11 |
| Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo: Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa: Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza. |
| 12 |
| Ai Mukama ow'eggye, Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/084.mp3
150
84