×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 84

1
W'obeera nga walungi, ayi Mukama Nnannyinimagye!
2
Neegomba nnyo okulaba empya za Mukama. Nzenna olw'essanyu, nnyimbira Katonda Nnannyinibulamu.
3
Weewaawo enkazaluggya zeezimbira ebisu, obutaayi nabwo bwekolera we bubiikira amagi gaabwo, okumpi n'alutaari zo, ayi Mukama Nnannyinimagye, Kabaka wange era Katonda wange.
4
Ba mukisa abo ababeera mu nnyumba yo, nga bayimba okukutendereza.
5
Ba mukisa abo abeesiga ggwe, amaanyi be gaba mu ggwe, abalumirwa okulamaga e Siyooni.
6
Nga bayita mu Kiwonvu Baka ekikalu, bakifuula ekivulula amazzi. Enkuba esooka ekijjuza ebidiba.
7
Bagenda nga beeyongera amaanyi, okutuusa lwe balirabika mu maaso ga Katonda mu Siyooni.
8
Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, wulira okwegayirira kwange. Tega okutu ayi Katonda wa Yakobo.
9
Ayi Mukama, atutaasa, tunuulira omusiige wo.
10
Olunaku olumu mu mpya zo, lusinga olukumi ze mmala awalala. Nandisiimye okuyimirira ku mulyango ogw'ennyumba ya Katonda, okusinga okubeeranga mu mayumba g'aboonoonyi,
11
kubanga Mukama Katonda ye Kabaka oweekitiibwa atutaasa. Abeegendereza taliiko kirungi ky'abamma.
12
Ayi Mukama Nnannyinimagye, omuntu akwesiga, nga wa mukisa!
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes