Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama ow’Eggye! |
| 2 |
| Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olw’empya za Mukama, omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu. |
| 3 |
| Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi n’Ebyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange. |
| 4 |
| Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga. |
| 5 |
| Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go, era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go. |
| 6 |
| Bayita mu kiwonvu Baka, ne bakifuula ekifo ky’ensulo; n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo. |
| 7 |
| Bagenda beeyongera amaanyi, okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni. |
| 8 |
| Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye; mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo. |
| 9 |
| Ayi Katonda, Engabo yaffe, tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta. |
| 10 |
| Okumala olunaku olumu mu mpya zo, kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi. |
| 11 |
| Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa. |
| 12 |
| Ayi Mukama ow’Eggye alina omukisa omuntu akwesiga. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/084.mp3
150
84