×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 85

1
Ayi Mukama, wayagala ensi yo, n'ozzaawo emikisa gya Yakobo.
2
Waggyawo ebibi by'abantu bo, ensobi zaabwe n'ozisonyiwa zonna.
3
Wakomya okubasunguwalira, n'okubakwatirwa ekiruyi.
4
Ayi Katonda Omulokozi waffe, ggwe otuzze mu nteeko, okomye okutunyiigira.
5
Onootusunguwaliranga ennaku zonna? Obusungu bwo tebulikoma?
6
Ddamu okutwongera amaanyi, ffe ababo tukusanyukirenga ggwe.
7
Tulage ekisa kyo ayi Mukama, otulokole.
8
Ka mpulire Katonda Mukama ky'agamba, kubanga asuubiza mirembe ababe b'ayagala, bwe bataddayo mu busirusiru bwabwe.
9
Ddala yeeteeseteese okulokola abo abamutya, ekitiibwa kiryoke kibeerenga mu nsi yaffe.
10
Ekisa n'obwesigwa binaasisinkana, obutuukirivu n'emirembe binaanywegeragana.
11
Obwesigwa bunaameruka mu nsi, obutuukirivu bunaasinziira mu ggulu ne butunula ku nsi.
12
Ddala Mukama anaatuwa ebirungi, era ensi yaffe eneeba mu kyengera kingi.
13
Obutuukirivu bunaakulembera Mukama, ne bumwerulira ekkubo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes