Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama; Yakobo omuddizza ebibye. |
| 2 |
| Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe, n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako. |
| 3 |
| Ekiruyi kyo kyonna okirese, n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka. |
| 4 |
| Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe, oleke okutusunguwalira. |
| 5 |
| Onootusunguwaliranga emirembe gyonna? Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe? |
| 6 |
| Tolituzaamu ndasi, abantu bo basanyukirenga mu ggwe? |
| 7 |
| Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda, era otuwe obulokozi bwo. |
| 8 |
| Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba; asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe; naye tebaddayo mu byonoono byabwe. |
| 9 |
| Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya, ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye. |
| 10 |
| Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye; obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye. |
| 11 |
| Obwesigwa bulose mu nsi, n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu. |
| 12 |
| Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi, n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi. |
| 13 |
| Obutuukirivu bunaamukulemberanga, era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/085.mp3
150
85