×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 85

1
Mukama, watunuulira ensi yo n'ekisa; Wazza obusibe bwa Yakobo.
2
Wasonyiwa obutali butuukirivu obw'abantu bo, Wabikka ku kibi kyabwe kyonna.
3
Waggyawo obusungu bwo bwonna; Wakyuka n'oleka ekiruyi kyo ekikambwe.
4
Otukyuse, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe. Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe.
5
Onootusunguwaliranga ennaku zonna? Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna?
6
Tolituzuukiza nate, Abantu bo bakusanyukirenga ggwe?
7
Otulage okusaasira kwo, Ayi Mukama, Otuwe obulokozi bwo.
8
Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera; Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n'abatukuvu be, Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.
9
Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.
10
Okusaasira n'amazima birabaganye; Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye.
11
Amazima galose mu ttaka; N'obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu.
12
Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.
13
Obutuukirivu bunaamukulemberanga; Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes