×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 86

1
Ayi Mukama, tega okutu kwo onziremu, kubanga ndi mwavu ateeyamba.
2
Kuuma obulamu bwange, ku ggwe kwe nnyweredde. Ayi ggwe Katonda wange, nze omuweereza wo akwesiga, ndokola!
3
Nkwatirwa ekisa, ayi Mukama, nkukoowoola olunaku lwonna.
4
Nze omuweereza wo nsanyusa, ayi Mukama, omwoyo gwange nguyimusa gy'oli.
5
Ayi Mukama, oli mulungi, osonyiwa, oli wa kisa kingi eri buli akukoowoola.
6
Ayi Mukama, wulira kye nsaba, wuliriza okwegayirira kwange.
7
Mu kiseera eky'obuyinike nkukoowoola, kubanga onziramu.
8
Ggwe Katonda wekka, teri mulala yenkana nga ggwe, ayi Mukama, ggwe bye wakola teri mulala yali abikoze.
9
Amawanga gonna ge wakola galijja ne gakuvuunamira, era galikugulumiza.
10
Oli mukulu, okola ebyamagero, ggwe wekka ggwe Katonda.
11
Njigiriza ekkubo ly'oyagala nkwate, ayi Mukama, nkuwulirenga. Luŋŋamya omutima gwange nkussengamu ekitiibwa.
12
Ayi Mukama Katonda wange, nnaakutenderezanga n'omutima gwange gwonna, nnaakugulumizanga emirembe gyonna,
13
kubanga onkwatirwa ekisa kingi, wamponya obunnya bw'emagombe.
14
Abeekulumbaza bansitukiddemu, ayi Mukama, ekibiina ky'abantu abatakuliiko kyagala kunzita.
15
Naye ggwe ayi Mukama oli Katonda ow'ekisa era omusaasizi, alwawo okusunguwala, ajjudde ekisa n'obwesigwa.
16
Kyukira gye ndi onkwatirwe ekisa, nze omuweereza wo ompe amaanyi, lokola omwana w'omuzaana wo.
17
Mpa akabonero akalaga bw'oli omulungi, abankyawa baswale nga balaba bw'onnyambye era bw'onsanyusizza.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes