×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 86

1
Essaala. Ya Dawudi. Tega okutu, ayi Mukama, nnyanukula, anti ndi munaku, ndi mwavu.
2
Kuuma omwoyo gwange kubanga ndi mutuufu; ayi Katonda wange, lokola omuweereza wo, obwesige bwe buli mu ggwe.
3
Nsaasira, ayi Mukama, kubanga nkukoowoola olunaku lwonna.
4
Sanyusa omwoyo gw'omuweereza wo, kubanga gy'oli, ayi Mukama, gye nsitulidde omwoyo gwange.
5
Anti ggwe, ayi Mukama, oli mulungi, era osaasira; ojjudde ekisa eri bonna abakukoowoola.
6
Wuliriza, ayi Mukama, essaala yange; tegereza eddoboozi ly'okuwanjaga kwange.
7
Ku lunaku nga ndi mu buyinike, ndikukoowoola, kubanga olimpulira.
8
Teri akwenkana mu balubaale, ayi Mukama, era teri mulimu gufaanana mulimu gwo.
9
Amawanga gonna ge wakola, galijja ne gakusinza ggwe, ayi Mukama, era galibbiramu erinnya lyo.
10
Kubanga oli wa kitalo, okola ebyewuunyisa, ggwe wekka ggwe Katonda.
11
Njigiriza, ayi Mukama, ekkubo lyo, nange nditambulira mu mazima go; kumaakuma omutima gwange, gutye erinnya lyo.
12
Ndikugulumiza, ayi Mukama, Katonda wange, n'omutima gwange gwonna, ndibbiramu erinnya lyo emirembe gyonna.
13
Kubanga okwagala kw'onjagalamu kusuffu; omwoyo gwange waguggya emagombe ekkuzimu.
14
Ayi Katonda, abeekuza bannumbye, n'ekibinja ky'abakambwe kinoonya omwoyo gwange, naawe tebakufa nako.
15
Naye ggwe, ayi Mukama, oli Katonda ow'ekisa, omusaasizi, tosunguwala mangu, ojjudde ekisa n'obwesigwa.
16
Kyukira gye ndi onsaasire; amaanyi go gawe omuweereza wo, era dduukirira omwana w'omuzaana wo.
17
Mpa akabonero akalaga obulungi, abankyawa balabe, baswale, olw'okubeera ggwe, ayi Mukama, onnyambye n'onkubagiza.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Gaabu Hantumya