|
| 1 |
|
| Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule, kubanga ndi mwavu atalina kintu. |
|
| 2 |
|
| Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa. Katonda wange, ondokole nze omuddu wo akwesiga. |
|
| 3 |
|
| Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola. |
|
| 4 |
|
| Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama; kubanga omwoyo gwange nguyimusa eyo gy’oli. |
|
| 5 |
|
| Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo. |
|
| 6 |
|
| Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama; owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo. |
|
| 7 |
|
| Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga; kubanga ononnyanukulanga. |
|
| 8 |
|
| Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama; era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo. |
|
| 9 |
|
| Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda ganajjanga mu maaso go ne gakusinza; era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa. |
|
| 10 |
|
| Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa; ggwe wekka ggwe Katonda. |
|
| 11 |
|
| Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama, ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana, ntyenga erinnya lyo. |
|
| 12 |
|
| Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna; erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna. |
|
| 13 |
|
| Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe. |
|
| 14 |
|
| Ayi Katonda, ab’amalala bannumba, ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita, be bantu abatakufiirako ddala. |
|
| 15 |
|
| Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa, olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa. |
|
| 16 |
|
| Onkyukire, onsaasire, ompe amaanyi go nze omuweereza wo; nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole. |
|
| 17 |
|
| Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo, abalabe bange bakalabe baswale; kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi. |
|
|
|
|