×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 86

1
Otege okutu kwo, Ayi Mukama, onziremu; Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu.
2
Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda. Ayi ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga.
3
Onsaasire, Ayi Mukama; Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde.
4
Osanyuse emmeeme y'omuddu wo; Kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe, Ayi Mukama.
5
Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.
6
Otege okutu, Ayi Mukama, eri okusaba kwange; Owulire eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
7
Ku lunaku olw'okunakuwala kwange ndikukoowoola; Kubanga olinziramu.
8
Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, Ayi Mukama; So tewali bikolwa ebiri ng'ebibyo.
9
Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go, Ayi Mukama; Era galigulumiza erinnya lyo.
10
Kubanga ggwe mukulu, era okola eby'ekitalo, Ggwe Katonda wekka.
11
Onjigirizenga ekkubo lyo, Ayi Mukama; nnaatambuliranga mu mazima go. Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.
12
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n'omutima gwange gwonna; Era naagulumizanga erinnya lyo emirembe gyonna.
13
Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi; Era wawonya emmeeme yange mu bunnya obuli wansi ennyo.
14
Ayi Katonda, ab'amalala bangolokokeddeko, N'ekibiina eky'abatemu banoonyezza emmeeme yange, So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe.
15
Naye ggwe, Ayi Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n'amazima amangi.
16
Onkyukire, onsaasire; Owe omuddu wo amaanyi go, Olokole omwana w'omuzaana wo.
17
Ondage akabonero olw'obulungi; Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi. Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye, era onsanyusizza.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes