Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mukama yazimba ekibuga kye ku lusozi olutukuvu. |
| 2 |
| Ayagala ekibuga kye Siyooni okusinga ebifo byonna ebya Yakobo. |
| 3 |
| Ggwe ekibuga kya Katonda, oyogerwako ebyekitiibwa bino: |
| 4 |
| “Mu mawanga agammanyi, ndibaliramu Misiri ne Babilooniya. Ab'e Filistiya, Tiiro ne Etiyopiya ndibabalira mu bazaaliranwa b'e Siyooni.” |
| 5 |
| Siyooni kiryogerwako nti ab'eggwanga gundi ne gundi mu kyo bazaaliranwa. Era yennyini Atenkanika alikinyweza. |
| 6 |
| Mukama aliwandiika abantu mu mawanga, n'ababala okuba abazaaliranwa b'e Siyooni. |
| 7 |
| Abayimbi n'abazinyi bagamba nti: “Emikisa gyaffe gisibuka mu ggwe.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/087.mp3
150
87