BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Lwa batabani ba Kora. Zabbuli. Luyimba. Emisingi gyakyo wagissa ku lusozi olutukuvu. |
| 2 |
| Omukama ayagala emiryango gya Siyoni okusinga ebisulo byonna ebya Yakobo. |
| 3 |
| Ebikwogerwako bya kitiibwa, ayi kibuga kya Katonda. |
| 4 |
| “Ndibalira Rakabu ne Babiloni mu bammanyi; era Filisitiya ne Tiiro wamu ne Kuusi ndigamba nti: ‘Bano bazaalibwa omwo.’ ” |
| 5 |
| Ne Siyoni balimwogerako nti: “Ono n'oli bazaalibwa omwo; Ali Waggulu Ddala yennyini ye yakinywezaawo.” |
| 6 |
| Omukama aliwandiika mu kitabo ky'amawanga: “Ono azaalibwa omwo.” |
| 7 |
| Bayimba nga bakooloobya nti: “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.” |
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/087.mp3
150
87