Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu. |
| 2 |
| Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni okusinga ennyumba zonna eza Yakobo. |
| 3 |
| Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako, ggwe ekibuga kya Katonda. |
| 4 |
| “Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu, ne Babulooni; era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ” |
| 5 |
| Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono n’oli baazaalirwa omwo,” n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza. |
| 6 |
| Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati, omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.” |
| 7 |
| Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/087.mp3
150
87