Luganda Bible
|
| 1 |
| Ai Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange, Naakaabiranga emisana n'ekiro mu maaso go: |
| 2 |
| Okusaba kwange kuyingire w'oli; Otege okutu kwo eri okukaaba kwange: |
| 3 |
| Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku, N'obulamu bwange busemberera e magombe. |
| 4 |
| Bambalira wamu n'abo abakka mu bunnya; Nninga omuntu atalina mubeezi: |
| 5 |
| Asuulibwa mu bafu, Ali ng'abattibwa abagalamira mu ntaana, B'otojjukira nate; Era bayawukana n'omukono gwo. |
| 6 |
| Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo, Mu bifo eby'enzikiza, mu buziba. |
| 7 |
| Obusungu bwo bunyigiriza nnyo, Era ombonyabonyezza n'amayengo go gonna. (Seera) |
| 8 |
| Onjawukanyirizza wala n'abo be mmanyi; Onfudde ekitama eri abo: Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu. |
| 9 |
| Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala: Nkukaabira buli lunaku, ai Mukama, Ntega engalo zange eri ggwe. |
| 10 |
| Oliraga abafu eby'amagero? Abaafa baligolokoka balikutendereza? (Seera) |
| 11 |
| Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe? N'obwesigwa bwo mu kuzikirira? |
| 12 |
| Eby'amagero byo birimanyirwa mu kizikiza? N'obutuukirivu bwo mu nsi ey'okwerabira? |
| 13 |
| Naye ggwe, ai Mukama, gwe nkaabira, Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go. |
| 14 |
| Mukama, kiki ekikusuuza emmeeme yange? Kiki ekikunkwesa amaaso go? |
| 15 |
| Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange: Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo. |
| 16 |
| Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko; Entiisa zo zinzingizizza. |
| 17 |
| Banneetooloola ng'amazzi okuzibya obudde; Bantaayiza eruuyi n'eruuyi wamu. |
| 18 |
| Abanjagala ne mikwano gyange obaawukanyizza wala nange, N'abo be mmanyi mu kizikiza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/088.mp3
150
88