Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama Katonda Omulokozi wange, nkaaba olunaku lwonna, n'ekiro nzija gy'oli. |
| 2 |
| Wulira kye nsaba, wulira bwe nkaaba! |
| 3 |
| Obuyinike nnina bungi, era nsemberedde emagombe. |
| 4 |
| Mbalirwa mu bakka mu bunnya, ndi awo sirina buyambi. |
| 5 |
| Ndekeddwa nzekka mu bafu, ndi ng'abattibwa, abagalamira mu ntaana, b'otokyajjukira era b'otokyayamba. |
| 6 |
| Ontadde mu bunnya obusse ennyo, mu bifo eby'ekizikiza, eby'ebuziba. |
| 7 |
| Obusungu bwo bunnyigiriza nnyo, amayengo gaabwo gambonyaabonya. |
| 8 |
| Onjawukanyizza n'ab'emikwano, onfudde kyenyinyalwa gye bali. Nsibiddwa mwe siyinza kuva. |
| 9 |
| Amaaso gankambira olw'okunakuwala. Buli lunaku nkowoola ggwe, ayi Mukama, ne nkugololera emikono. |
| 10 |
| Abafu b'olikolera ebyamagero? Be balivaayo ne bakutendereza? |
| 11 |
| Ekisa kyo kiritenderwa mu ntaana, n'obwesigwa bwo mu kifo eky'okuzikirira? |
| 12 |
| Ebyamagero byo birimanyirwa mu kizikiza, n'obulungi bwo mu nsi y'abeerabirwa? |
| 13 |
| Ayi Mukama, nkukoowoola, era buli olukya nkusaba. |
| 14 |
| Lwaki Mukama onsuulirira? Lwaki kaakano onneekweka? |
| 15 |
| Mbonaabona ne nkaaba, okuviira ddala mu buto, ontiisa ne neeraliikirira. |
| 16 |
| Obusungu bwo bummalawo, onzikiriza n'ebintiisa. |
| 17 |
| Olunaku lwonna binneetooloola ng'engezi ezikulukuta, bintaayiza enjuyi zonna. |
| 18 |
| Abammanyi n'abanjagala onjawukanyizza nabo. Gye ndi nayo yokka ye nzikiza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/088.mp3
150
88