×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 89

1
Nnaayimbanga ku kisa kyo, ayi Mukama ennaku zonna. Obwesigwa bwo nnaabutenderezanga emirembe gyonna.
2
Ekisa kyo kya mirembe gyonna, obwesigwa bwo tebuggwaawo, buli ng'eggulu obugumu.
3
Wagamba nti: “Nkoze endagaano ne gwe nnonze. Omuweereza wange Dawudi mmusuubizza nti:
4
‘Ezzadde lyo ndirikuuma ennaku zonna, n'entebe yo ey'obwakabaka ndiginyweza emirembe gyonna.’ ”
5
Mu ggulu abatukuvu gye bakuŋŋaanidde banaatenderezanga ebyamagero byo, n'obwesigwa bwo, ayi Mukama.
6
Mu ggulu teri n'omu akwenkana ggwe, ayi Mukama. Ani mu b'omu ggulu ali nga ggwe?
7
Otiibwa mu lukiiko lw'abatukuvu, otiibwa nnyo mu bakwetoolodde.
8
Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, teri alina buyinza nga ggwe, ayi Mukama. Oli mwesigwa mu byonna.
9
Ggwe ofuga obusungu bw'ennyanja, okkakkanya amayengo agatumbiira.
10
Ekikulejje Rahabu wakibetenta n'okitta. Abalabe bo wabasaasaanya n'obuyinza bwo obw'amaanyi.
11
Eggulu liryo, n'ensi yiyo, n'ebibirimu ggwe wabikola.
12
Watonda obukiikakkono n'obukiikaddyo. Ensozi Tabori ne Herumooni zikuyimbira nga zisanyuka.
13
Oli wa buyinza nnyo ggwe, oli nnantawangulwa ow'amaanyi.
14
Entebe y'obwakabaka bwo eteekeddwa mu butuukirivu ne mu mazima. Okolera ku kisa na ku bwesigwa.
15
Ba mukisa abakuyimbira nga basanyuka, ne bagabana ku ssanyu lyo, ayi Mukama.
16
Olunaku lwonna ne basanyuka ku lulwo, ne batendereza obulungi bwo,
17
kubanga obawa ekitiibwa era n'amaanyi. Olw'ekisa kyo otuwa ffe obuwanguzi.
18
Ayi Mukama, ggwe walonda atutaasa, ggwe Omutuukirivu wa Yisirayeli, ggwe watuwa kabaka waffe.
19
Mu biro biri eby'edda abaweereza bo abeesigwa wabalabikira n'ogamba nti: “Ow'amaanyi gwe nnyambye. Ngulumizza oyo eyalondebwa mu bantu.
20
Omuweereza wange Dawudi mmuwadde obwakabaka, nga mmufukako omuzigo omutukuvu.
21
Amaanyi gange ganaabanga naye, obuyinza bwange bunaamuwanga amaanyi.
22
Abalabe be tebaamujoogenga, talitoowazibwa babi.
23
Ndibetenta ng'alaba abalwanagana naye, nditta abamukyawa.
24
Obwesigwa bwange n'ekisa kyange binaabeeranga naye. Ndimuwa okuwangula.
25
Obwakabaka bwe ndibugaziya okuva ku nnyanja Eyaawakati, okutuuka ku Mugga Ewufuraate.
26
Anaŋŋambanga nti: ‘Ggwe kitange era Katonda wange, ggwe ontaasa era ggwe ondokola.’
27
Ndimufuula asooka mu bonna, asinga bakabaka bonna ku nsi.
28
Nnaabeeranga wa kisa gy'ali bulijjo, ndinyweza endagaano yange naye.
29
Ezzadde lye ndiriwangaaza ennaku zonna, mu bazzukulu be temulibula kabaka.
30
“Bazzukulu be bwe balijeemera amateeka gange, ne bava ku bye mbalagira okukola,
31
bwe balinyooma bye nateekawo, ne bamenya ebiragiro byange,
32
ndibakuba olw'ensobi zaabwe, ndibabonereza olw'ebibi byabwe.
33
Wabula ndisigala nkyamukwatirwa ekisa, ndisigala ndi mwesigwa gy'ali.
34
Sirimenya ndagaano yange naye, sirijjulula ku bye mmusuubizza.
35
“Nneerayirira namala: Dawudi sirimulimba.
36
Ezzadde lye liribeerera ennaku zonna, obwakabaka bwe mbukuumenga ng'enjuba bwe ngibeesaawo.
37
Buliba ng'omwezi ku ggulu bwe guli: kalabaalaba atakoowa kuboneka.”
38
Naye ogobye era osudde omusiige wo, kaakano omusunguwalidde.
39
Endagaano yo n'omuweereza wo ogimenyeewo, engule ye ogisudde mu nfuufu.
40
Enkomera z'ekibuga kye ozimenye, ebigo bye obifudde matongo.
41
Abayitawo bonna beenyagira ebibye, baliraanwa be bamusekerera.
42
Abalabe be obawadde okuwangula, abatamwagala ne basanyuka.
43
Ebyokulwanyisa bye obifudde bitagasa, mu lutalo omulese teyeeyinza.
44
Ddamula ogumuggyeeko, osudde wansi entebe ye kw'afugira.
45
Omukaddiyizza nga muto, era n'omuswazaswaza.
46
Ayi Mukama, olituusa wa? Olyekwekera ennaku zonna? N'obusungu bwo bulikoma ddi okubuubuuka ng'omuliro?
47
Ayi Mukama, jjukira obulamu bwange bwe buli obumpi. Jjukira ng'abatonde bonna enkomerero yaabwe kufa.
48
Ani omulamu atalifa? Ani alyewonya amagombe?
49
Ayi Mukama, ekisa kyo kiri ludda wa eky'edda, ggwe omwesigwa kye wasuubiza Dawudi?
50
Ayi Mukama, jjukira omuddu wo nga bwe nvumibwa. Ngumiikiriza ebivumo by'abantu.
51
Ayi Mukama, abalabe bo bavuma omusiige wo, buli w'alaga bamuvuma.
52
Mukama atenderezebwenga bulijjo! Amiina era Amiina.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes