|
| 1 |
|
| Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna; Naayolesanga ebikolwa byo eby'ekitalo byonna. |
|
| 2 |
|
| Naasanyukanga naajagulizanga mu ggwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo. |
|
| 3 |
|
| Abalabe bange bwe badda ennyuma, Beesittala ne bazikirira mu maaso go. |
|
| 4 |
|
| Kubanga ggwe wayamba ensonga yange n'ebigambo byange; Watuula ku ntebe, ng'osala omusango ogw'ensonga. |
|
| 5 |
|
| Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe. |
|
| 6 |
|
| Abalabe baweddewo, baviibwamu emirembe egitaggwaawo; N'ebibuga bye wamenya. Era n'ekijjukizo kyabyo kizikiridde. |
|
| 7 |
|
| Naye Mukama abeererawo emirembe egitaggwaawo: Ateeseteese entebe ye okusala omusango. |
|
| 8 |
|
| Naye alisala omusango ogw'ensi zonna mu butuukirivu, Aliwa omusango amawanga mu mazima. |
|
| 9 |
|
| Era Mukama anaabeeranga kigo ekiwanvu eri abayigganyizibwa, Ekigo ekiwanvu mu biro eby'ennaku; |
|
| 10 |
|
| N'abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya. |
|
| 11 |
|
| Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni: Mubuulire ebikolwa bye mu bantu. |
|
| 12 |
|
| Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira: Teyeerabira kukaaba kw'abaavu. |
|
| 13 |
|
| Onsaasire, ai Mukama; Laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye, Ggwe annyimusa ku miryango egy'olumbe; |
|
| 14 |
|
| Ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna: Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Naasanyukiranga obulokozi bwo. |
|
| 15 |
|
| Amawanga gagudde mu bunnya bwe baasima: Mu kyambika kye baatega ekigere kyabwe mwelukwatiddwa: |
|
| 16 |
|
| Mukama yeetegeezezza, atuukirizza omusango: Omubi akwatibwa mu mirimu gy'emikono gye. (Kiggayoni. Seera |
|
| 17 |
|
| Ababi balidda mu magombe. Ge mawanga gonna ageerabira Katonda. |
|
| 18 |
|
| Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna, So essuubi ery'abawombeefu teriibulenga emirembe gyonna. |
|
| 19 |
|
| Golokoka, ai Mukama; abantu balemenga okuwangula: Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go. |
|
| 20 |
|
| Obatiise, ai Mukama: Amawanga geetekeere nga bantu buntu. (Seera) |
|
|
|
|