×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 9

1
Ayi Mukama, nnaakwebazanga n'omutima gwange gwonna, nnaatendanga byonna by'okola ebyewuunyisa.
2
Nnaasanyukanga ne njaguliza mu ggwe, nnaayimbanga okukutendereza ggwe Atenkanika.
3
Bw'olabika, abalabe bange badda emabega, ne bagwa ne bazirika,
4
kubanga wayingira mu nsonga zange, n'osala omusango mu bwenkanya.
5
Waboggolera abantu ab'ensi, n'ozikiriza ababi: tebakyaddayo kujjukirwa.
6
Abalabe baffe baggweerawo ddala. Ebibuga byabwe wabizikiriza, ne beerabirirwa ddala.
7
Naye Mukama ye Kabaka emirembe gyonna, yateekawo entebe ye kw'asalira emisango.
8
Alamula ensi zonna mu bwenkanya, asalira amawanga gonna omusango mu mazima.
9
Mukama kye kiddukiro ky'abanyigirizibwa, ekiddukiro mu biseera eby'obuyinike.
10
Abakumanyi banaakwesiganga, ayi Mukama, kubanga abajja gy'oli tobaabulira.
11
Muyimbe okutendereza Mukama abeera mu Siyooni, mubuulire abantu bonna by'akola,
12
kubanga Katonda ajjukira ababonaabona, teyeerabira kukaaba kwabwe, era abonereza abababonyaabonya.
13
Nkwatirwa ekisa, ayi Mukama! Laba abankyaye bwe bambonyaabonya. Mponya okugenda e Magombe
14
ndyoke nnangirire ettendo lyo eri abantu ab'omu Siyooni, nsanyuke kubanga ondokodde.
15
Abantu ab'ensi bagudde mu bunnya bwe baasima, bakwatiddwa mu mutego gwe baatega.
16
Mukama yeeragidde mu ngeri gy'asalamu emisango, ababi bakwatiddwa mu ebyo, bo bennyini bye baakola.
17
Ababi n'abo bonna abeerabira Katonda, ba kugenda emagombe.
18
Abaavu tebeerabirwenga mirembe gyonna, abanaku tebasuubirira bwereere ennaku zonna.
19
Jjangu ayi Mukama, tokkiriza bantu kukunyooma. Abantu ab'ensi baleetebwe mu maaso go basalirwe omusango.
20
Ggwe batiise ayi Mukama, bamanye nti bantu buntu.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes