|
| 1 |
|
| Nnakwebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Nnaatenderezanga ebikolwa byo byonna eby'ekitalo. |
|
| 2 |
|
| Nnaasanyukanga nnaajagulizanga mu ggwe. Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo. |
|
| 3 |
|
| Bw'olabika, abalabe bange badda emabega, bagwa ne bazikirira mu maaso go. |
|
| 4 |
|
| Kubanga ggwe wayingira mu nsonga yange, nemu bigambo byange. Watuula ku ntebe, ng'osala omusango mu bwenkanya. |
|
| 5 |
|
| Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe. |
|
| 6 |
|
| Abalabe baffe baggweerawo ddala. Ebibuga byabwe wabimenya n'obisaanyaawo. Era ne beerabirirwa ddala. |
|
| 7 |
|
| Naye Mukama ye Kabaka emirembe egitaggwaawo: Yateekawo entebe ye kw'alisalira emisango. |
|
| 8 |
|
| Afuga ensi yonna mu butuukirivu, Asalira omusango amawanga gonna mu mazima. |
|
| 9 |
|
| Mukama kye kiddukiro Ky'abo abayigganyizibwa, Ekiddukiro mu biro eby'ennaku. |
|
| 10 |
|
| N'abo abakumanyi banaakwesiganga, Kubanga ggwe, Mukama, toleka bakunoonya. |
|
| 11 |
|
| Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni. Mubuulire ebikolwa bye mu bantu. |
|
| 12 |
|
| Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira, Teyeerabira kukaaba kw'abaavu. |
|
| 13 |
|
| Onsaasire, ayi Mukama. Laba abankyaye bwe bambonyaabonya. Mponya okuva mu kufa. |
|
| 14 |
|
| Ndyoke mbuulirenga abantu ettendo lyo lyonna, Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Nnaasanyukiranga obulokozi bwo. |
|
| 15 |
|
| Amawanga gagudde mu bunnya bwe gaasima, Bakwatiddwa mu mutego gwe baatega. |
|
| 16 |
|
| Mukama yeeragidde mu ngeri gy'asalamu emisango, Ababi bakwatiddwa mw'ebyo bo bennyini bye bakola. |
|
| 17 |
|
| Ababi baakugenda emagombe. Wamu n'amawanga gonna ageerabira Katonda. |
|
| 18 |
|
| Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna, N'essuubi ery'abawombeefu teriibabulenga emirembe gyonna. |
|
| 19 |
|
| Yimuka, ayi Mukama, Abantu bo balemenga okukunyooma. Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go. |
|
| 20 |
|
| Obatiise, ayi Mukama, Amawanga geetegeere nga bantu buntu. |
|
|
|
|