Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky'okutuulamu Mu mirembe gyonna. |
| 2 |
| Ensozi nga tezinnazaalibwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda. |
| 3 |
| Osindika abantu mu kuzikirira; Era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b'abantu. |
| 4 |
| Kubanga emyaka olukumi mu maaso go Giri ng'olwajjo olwayita, Era ng'ekisisimuka ky'ekiro. |
| 5 |
| Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng'otulo: Enkya bali ng'omuddo ogumera. |
| 6 |
| Enkya guloka, gumera; Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose. |
| 7 |
| Kubanga obusungu bwo butumalawo, Era bw'onyiiga ne tweraliikirira. |
| 8 |
| Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw'amaaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama mu musana gw'amaaso go. |
| 9 |
| Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo; Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo. |
| 10 |
| Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana; Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula. |
| 11 |
| Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo, N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa? |
| 12 |
| Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, Tulyoke tufune omutima omugezigezi. |
| 13 |
| Okomewo, ai Mukama; olituusa wa? Era wejjuse mu bigambo eby'abaddu bo. |
| 14 |
| Otukkuse enkya n'okusaasira kwo; Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna. |
| 15 |
| Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi. |
| 16 |
| Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe. |
| 17 |
| Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe: Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/090.mp3
150
90