Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama, okuva edda n'edda ggwe maka gaffe. |
| 2 |
| Ng'ensozi tonnazitonda, era nga tonnabumba nsi n'ebyamu, ggwe Katonda emirembe n'emirembe. |
| 3 |
| Abantu obazzaayo mu nfuufu, n'obagamba nti: “Muddeeyo gye mwasibuka.” |
| 4 |
| Emyaka olukumi ku ggwe giri ng'olunaku olwa jjo oluyise, oba ng'ekisisimuka ekimu mu kiro. |
| 5 |
| Otukuluggusa nga mukoka, tuyita buyisi nga kirooto. Tuli ng'omuddo ogumeruka ku makya, |
| 6 |
| ne gukula ne gumulisa ebimuli, we buzibira nga guwotose gukaze. |
| 7 |
| Ddala obusungu bwo butumalawo, bw'onyiiga ne tweraliikirira! |
| 8 |
| Ebyonoono byaffe obitadde mu maaso go, n'ebibi byaffe eby'ekyama obitadde w'obirabira. |
| 9 |
| Ennaku zaffe zisalwako obusungu bwo, obulamu bwaffe buggwaawo nga kikkowe. |
| 10 |
| Emyaka tukoma ku nsanvu, oba kinaana bwe tuba abagumu, ng'ate gijjudde okutegana era n'ebizibu. Giyita mangu, ne tubulawo. |
| 11 |
| Ani amanyi amaanyi g'obusungu bwo, era n'okunyiiga kwo bwe kutiibwa? |
| 12 |
| Tuyigirize obulamu bwe buli obumpi, tulyoke tufuuke ba magezi. |
| 13 |
| Obusungu bwo bulikoma wa? Abaweereza bo, ayi Mukama, tusaasire, |
| 14 |
| otujjuzenga ekisa ku makya, tusanyuke tuyimbenga mu bulamu bwaffe bwonna. |
| 15 |
| Otuwe essanyu lingi lisasule ebiseera biri mwe watubonyaabonyeza, n'emyaka emingi, mwe twalabira ennaku. |
| 16 |
| Olage abaweereza bo bw'okola ebyamagero. Bazzukulu baabwe nabo obalage ekitiibwa kyo. |
| 17 |
| Ayi Mukama Katonda waffe, emikisa gyo gibe ku ffe, emirimu gyaffe gyonna ogiwenga omukisa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/090.mp3
150
90