|
| 1 |
|
| Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu emirembe gyonna. |
|
| 2 |
|
| Ensozi nga tezinnabaawo, n’ensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda. |
|
| 3 |
|
| Omuntu omuzzaayo mu nfuufu, n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.” |
|
| 4 |
|
| Kubanga emyaka olukumi, gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita, oba ng’ekisisimuka mu kiro. |
|
| 5 |
|
| Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa. Ku makya baba ng’omuddo omuto. |
|
| 6 |
|
| Ku makya guba munyirivu, naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala. |
|
| 7 |
|
| Ddala ddala obusungu bwo butumalawo, n’obukambwe bwo bututiisa nnyo. |
|
| 8 |
|
| Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go, n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli. |
|
| 9 |
|
| Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde; tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda. |
|
| 10 |
|
| Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu, oba kinaana bwe tubaamu amaanyi. Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana, era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo. |
|
| 11 |
|
| Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo? Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana. |
|
| 12 |
|
| Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi. |
|
| 13 |
|
| Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi? Abaweereza bo bakwatirwe ekisa. |
|
| 14 |
|
| Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya, tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna. |
|
| 15 |
|
| Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya, era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku. |
|
| 16 |
|
| Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo, n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo. |
|
| 17 |
|
| Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe; weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe. |
|
|
|
|