×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 91

1
Buli addukira eri oyo Atenkanika n'akuumwa Omuyinzawaabyonna,
2
anaagambanga Mukama nti: “Ggwe Mukama wange ow'amaanyi, ggwe Katonda wange gwe neesiga,”
3
kubanga ye anaakuwonyanga emitego gy'abakuyigga, era ne kawumpuli akutta.
4
Ye anaakulabiriranga, akubikke mu biwaawaatiro bye. Ye mwesigwa anaakutaasanga, era anaakukuumanga.
5
Tootyenga ebitiisa mu budde obw'ekiro, wadde ebikulumba emisana,
6
oba olumbe oluttira mu nzikiza, wadde nnamuzisa akutugira mu ttuntu.
7
Awo ku lusegere w'oli bandigwa ne battibwa lukumi, n'omutwalo ne bagwa ne bafa ku ludda lwo olwa ddyo, naye ggwe n'otobaako kabi.
8
Olitunula ne weerolera omubi bw'afuna empeera ye.
9
Mukama gw'ofudde ekiddukiro kyo, Atenkanika ye mukuumi wo ataasa.
10
Kale tolituukibwako kabi, teri kibonoobono na kimu ekirituuka w'obeera.
11
Bamalayika be alibalagira bakukuume buli w'oliraga.
12
Balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja.
13
Olirinnya ku mpologoma enkambwe, osambe emisota gikalibusagwa.
14
Katonda agamba nti: “Ndimuwonya kubanga anjagala. Era oyo ammanyi ndimukuuma.
15
Anampitanga ne mpitaba, mu buyinike ndibeera naye. Ndimuwonya ne mmugulumiza.
16
Ndimuwangaaza nnyo era ndimulokola.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes