Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna. |
| 2 |
| Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange; ggwe Katonda wange gwe nneesiga. |
| 3 |
| Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi, ne kawumpuli azikiriza. |
| 4 |
| Alikubikka n’ebyoya bye, era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga; obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga. |
| 5 |
| Tootyenga ntiisa ya kiro, wadde akasaale akalasibwa emisana; |
| 6 |
| newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza, wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu. |
| 7 |
| Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo, n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo, naye olumbe terulikutuukako. |
| 8 |
| Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go; n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi. |
| 9 |
| Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo; Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera, |
| 10 |
| tewali kabi kalikutuukako, so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo. |
| 11 |
| Kubanga Mukama aliragira bamalayika be bakukuume mu makubo go gonna. |
| 12 |
| Balikuwanirira mu mikono gyabwe; oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja. |
| 13 |
| Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera; olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota. |
| 14 |
| “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya; nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange. |
| 15 |
| Anankowoolanga ne muyitabanga; nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi. Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa. |
| 16 |
| Ndimuwangaaza n’asanyuka era ndimulaga obulokozi bwange.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/091.mp3
150
91