EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Oyo atuula mu kifo eky'oyo ali waggulu ennyo, Anaabeeranga wansi w'ekisiikirize eky'Omuyinza w'ebintu byonna. |
| 2 |
| Nnaayongeranga ku Mukama nti, “Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.” |
| 3 |
| Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw'oyo akuyigga, Ne mu kawumpuli omubi. |
| 4 |
| Anaakubikkangako n'ebiwaawaatiro bye, Era wansi w'ebyoya bye w'onoddukiranga: Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma. |
| 5 |
| Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akakulumba emisana; |
| 6 |
| Olw'olumbe oluttira mu kizikiza, Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu. |
| 7 |
| Abantu olukumi (1,000) baligwa ne battibwa ku lubiriizi lwo, Era omutwalo (10,000) ne bagwa ku mukono gwo ogwa ddyo; Naye ggwe okuzikirira tekulikusemberera. |
| 8 |
| Naye olitunula n'amaaso go, Oliraba empeera y'ababi. |
| 9 |
| Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli kiddukiro kyange! Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula; |
| 10 |
| Tewali kabi akalikubaako, So tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo. |
| 11 |
| Kubanga alikulagiririza bamalayika be, Bakukuume mu makubo go gonna. |
| 12 |
| Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja. |
| 13 |
| Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa; Olisamba empologoma ento n'omusota wansi w'ebigere byo. |
| 14 |
| Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange. |
| 15 |
| Alinkaabira, nange ndimuyitaba; Nnaabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga: Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa. |
| 16 |
| Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu, Era ndimulaga obulokozi bwange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/091.mp3
150
91