Luganda Bible
|
| 1 |
| Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo: |
| 2 |
| Okwolesanga ekisa kyo enkya, N'obwesigwa bwo buli kiro. |
| 3 |
| N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi, era n'amadinda: N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga. |
| 4 |
| Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo. |
| 5 |
| Emirimu gyo nga mikulu, ai Mukama Ebirowoozo byo bya buziba nnyo. |
| 6 |
| Omuntu ali ng'ensolo tamanyi kino, So nga n'omusirusiru takitegeera: |
| 7 |
| Ababi bwe baloka ng'omuddo, Era abakozi b'obubi bonna bwe babeera; Kyebava beera bazikirizibwe emirembe gyonna: |
| 8 |
| Naye ggwe, ai Mukama, ogulumizibwanga emirembe n'emirembe. |
| 9 |
| Kubanga, laba, abalabe bo, ai Mukama, Kubanga, laba, abalabe bo balizikirira; Abakozi b'obubi bonna balisaasaanyizibwa. |
| 10 |
| Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng'ery'embogo: Nfukiddwako amafuta amaggya. |
| 11 |
| Era eriiso lyange Lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange, Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako. |
| 12 |
| Omutuukirivu alyera ng'olukindu; Alikula ng'omuvule mu Lebanooni. |
| 13 |
| Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama Balyerera mu mpya za Katonda waffe. |
| 14 |
| Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; Balijjula amazzi, baligejja: |
| 15 |
| Balage nga Mukama mutuukirivu; Oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/092.mp3
150
92