×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 92

1
Ayi Mukama, kirungi okukwebazanga, n'okuyimba okukutenderezanga ggwe Atenkanika.
2
Kirungi okwatula ekisa kyo buli nkya n'obwesigwa bwo buli kiro
3
nga bwe tusuna enkoba z'endongo nga tukubirako n'ennanga.
4
Ayi Mukama, bye wakola binsanyusa, nnyimba n'essanyu olw'ebyo bye watuukiriza.
5
Ayi Mukama, by'okola bikulu, ne by'olowooza byekusifu.
6
Omuntu eyasiruwala tamanya n'omusirusiru tategeera
7
nti ababi ne bwe bameruka ng'omuddo, nga ne bye bakola bibagendera bulungi, naye ku nkomerero bazikirira.
8
Kyokka ggwe ayi Mukama, ogulumizibwa ennaku zonna.
9
Ayi Mukama, kya mazima nti abalabe bo balifa. Abakozi b'ebibi bonna nabo balisaasaanyizibwa.
10
Naye nze ompadde amaanyi ng'ag'embogo, era onsiize omuzigo ne nnyirira.
11
Abalabe bange ndabye bwe bawanguddwa, abannumbagana bakaabye ne mpulira.
12
Abeesimbu mu mpisa zaabwe balyegolola ng'olukindu, balikula ng'emivule gy'omu Lebanooni.
13
Bali ng'emiti egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama, balikulira mu mpya za Katonda waffe.
14
Balikaddiwa ne basigala nga bakyabala ebibala, ng'era bagimu, ba mazzi. Balisigala nga bannyikivu
15
okulaga nti Mukama mutuukirivu, ye ankuuma, era taliimu bukuusa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes