Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Kirungi okwebazanga Mukama, n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo; |
| 2 |
| okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya, n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro. |
| 3 |
| Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga n’endere awamu n’entongooli. |
| 4 |
| Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza; kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo. |
| 5 |
| Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama; ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka! |
| 6 |
| Omuntu atalina magezi tamanyi; n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera; |
| 7 |
| newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo, n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi, boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe! |
| 8 |
| Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna. |
| 9 |
| Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama, abalabe bo balizikirira, abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa. |
| 10 |
| Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo, n’onfukako amafuta amalungi. |
| 11 |
| Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange; n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya. |
| 12 |
| Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu, ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni. |
| 13 |
| Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama. Baligimukira mu mpya za Katonda waffe. |
| 14 |
| Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala; baliba balamu era abagimu, |
| 15 |
| kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima, lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/092.mp3
150
92