×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 92

1
Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo:
2
Okwolesanga ekisa kyo enkya, N'obwesigwa bwo buli kiro.
3
N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi (10), era n'amadinda: N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga.
4
Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo.
5
Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama! Ebirowoozo byo nga bye buziba nnyo.
6
Omuntu eyasiruwala tamanya kino, So nga n'omusirusiru takitegeera:
7
nti ababi ne bwe baloka ng'omuddo, Era nga abakozi b'obubi bonna bwe babeera; bateegekeddwa okuzikirira emirembe gyonna:
8
Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwanga emirembe n'emirembe.
9
Kubanga, laba, abalabe bo, Ayi Mukama, Kubanga, laba, abalabe bo, balizikirira; Abakozi b'obubi bonna balisaasaanyizibwa.
10
Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng'ery'embogo: Nfukiddwako amafuta amaggya.
11
Era eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange, Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako.
12
Omutuukirivu alyera ng'olukindu; Alikula ng'omuvule mu Lebanooni.
13
Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama Bakulira mu mpya za Katonda waffe.
14
Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; Balijjula amazzi, baligejja:
15
Balage nga Mukama mutuukirivu; Oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes