×

Luganda Bible

Zabbuli 93

1
Mukama afuga; ayambadde obukulu: Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi: Era ensi enywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.
2
Entebe yo yanywera edda n'edda lyonna: Obeererawo okuva emirembe n'emirembe.
3
Amazzi gayimusizza, Ai Mukama, Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago; Amazzi gayimusa amayengo gaago.
4
Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi, Amayengo amanene ag'oku nnyanja, Mukama ali waggulu asinza amaanyi.
5
Bye wategeeza bya mazima ddala: Obutukuvu busaanira emmyumba yo, Ai Mukama, emirembe n'emirembe.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes