Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mukama ye Kabaka alina ekitiibwa n'amaanyi. Ddala yanyweza ensi, teyinza kusagaasagana. |
| 2 |
| Ayi Mukama, entebe yo ey'obwakabaka yanywererawo okuva edda n'edda lyonna. Oli wa lubeerera ennaku zonna. |
| 3 |
| Ennyanja esiikuuse, ayi Mukama, eyimusizza amayengo n'eyira. |
| 4 |
| Mukama ali mu ggulu wa maanyi okusinga okuwuuma kw'ennyanja, n'okukira amayengo gaayo ago agawuluguma ennyo lw'eba etaamye. |
| 5 |
| Ayi Mukama, bye walagira tebikyuka. Obutukuvu busaanira ennyumba yo ennaku zonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/093.mp3
150
93