EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mukama afuga; ayambadde obukulu: Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi: Era ensi ennywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana. |
| 2 |
| Entebe yo yanywera edda n'edda lyonna: Obeererawo okuva emirembe n'emirembe. |
| 3 |
| Amazzi gayimusizza, Ayi Mukama, Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago; Amazzi gayimusa amayengo gaago. |
| 4 |
| Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi, Amayengo amanene ag'oku nnyanja, Mukama ali waggulu asinza amaanyi. |
| 5 |
| Bye wategeeza bya mazima ddala: Obutukuvu busaanira ennyumba yo, Ayi Mukama, emirembe n'emirembe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/093.mp3
150
93