|
| 1 |
|
| Ai Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana, Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala. |
|
| 2 |
|
| Weeyimuse, ggwe asalira ensi emisango: Owe ab'amalala ebibagwanira. |
|
| 3 |
|
| Mukama, ababi balituusa wa, Ababi balituusa wa okuwangula? |
|
| 4 |
|
| Boogera ebitaliimu, n'eby'amalala: Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna. |
|
| 5 |
|
| Bamenyaamenya abantu bo, ai Mukama, Era babonyaabonya obusika bwo. |
|
| 6 |
|
| Batta nnamwandu ne munnaggwanga, Era batta atalina kitaawe. |
|
| 7 |
|
| Ne boogera nti Mukama taalabe, So Katonda wa Yakobo taalowooze. |
|
| 8 |
|
| Mulowooze, mmwe abali ng'ensolo mu bantu: Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi? |
|
| 9 |
|
| Eyateekawo okutu, taliwulira? Eyabumba eriiso, taliraba? |
|
| 10 |
|
| Abonereza amawanga, talikangavvula, Ayigiriza abantu amagezi? |
|
| 11 |
|
| Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu, Nga mukka. |
|
| 12 |
|
| Alina omukisa omuntu gw'obonereza, ai Mukama, Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go; |
|
| 13 |
|
| Olyoke omuwummuze aleme okulaba ebiro eby'ennaku, Okutuusa obunnya lwe bulisimirwa ababi. |
|
| 14 |
|
| Kubanga Mukama talisuula bantu be, So talireka busika bwe. |
|
| 15 |
|
| Kubanga omusango gulidda mu butuukirivu: Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera. |
|
| 16 |
|
| Ani anangolokokera ku abo abakola obubi? Ani anannyimiririra ku bakozi b'ebitali bya butuukirivu? |
|
| 17 |
|
| Singa Mukama teyali mubeezi wange, Emmeeme yange yanditudde mangu awali okusirika. |
|
| 18 |
|
| Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera, Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira. |
|
| 19 |
|
| Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze Okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange. |
|
| 20 |
|
| Abafuga ababi balissa ekimu naawe, Abalagira eby'ettima mu mateeka? |
|
| 21 |
|
| Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu, Ne basala omusango okusinga omusaayi ogutaliiko kabi. |
|
| 22 |
|
| Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu; Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna. |
|
| 23 |
|
| Era abaleeseeko obutali butuukirivu bwabwe bo, Era alibazikiriza mu bubi bwabwe; Mukama Katonda waffe alibazikiriza. |
|
|
|
|