×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 94

1
Ayi Mukama, Katonda omuwoolezi w'eggwanga, labika owoolere eggwanga.
2
Ggwe asala emisango gya bonna, jjangu owe abeekulumbaza ekibasaanira.
3
Ayi Mukama, ababi balituusa wa, balituusa wa okwewaana?
4
Bonna abakozi b'ebibi beewanika, beetenda, boogera nga beewaana.
5
Balinnyirira abantu bo, ayi Mukama, babonyaabonya abo be weefunira.
6
Batta bannamwandu n'enfuuzi, era batemula abagenyi.
7
Bagamba nti: “Mukama taabirabe. Katonda wa Yakobo abifaako ki?”
8
Bantu mmwe, mwasiruwala ngeri ki? Muliba ddi n'amagezi?
9
Eyateekawo amatu ye atawulira? Eyakola amaaso ye atalaba?
10
Akangavvula amawanga ye atabonereza, ng'ate ye ayigiriza abantu amagezi?
11
Mukama akimanyi nti bye balowooza mukka bukka.
12
Ayi Mukama, wa mukisa oyo gw'okangavvulako ne gw'oyigiriza amateeka go.
13
Omuwummuza mu biseera ebizibu okutuusa ababi lwe basimirwa obunnya,
14
kubanga Mukama tasuula babe, abantu be tabaabulira.
15
Obwenkanya mu misango buliddawo, ne bugobererwa bonna ab'emitima emirongoofu.
16
Ani asituka antaase ababi? Ani ayimirira amponye abakozi b'ebyambyone?
17
Singa Mukama teyannyamba, nandibadde nagenda dda e Butanyega.
18
Olwayogerako nti: “Nseeredde”, ggwe ayi Mukama omuzirakisa, n'ompanirira amangwago.
19
Bwe mbeera mu buyinike obungi onkubagiza ne nsanyuka.
20
Abafuzi ababi tokkaanya nabo, abeesigamya obutali bwenkanya ku mateeka,
21
abeekobaana okutta omulungi, ne basalira ogw'okufa atalina musango.
22
Naye Nze Mukama ye ankuuma, era Katonda wange ye antaasa.
23
Alibabonereza olw'ebibi byabwe, abazikirize olw'obubi bwabwe. Mukama Katonda waffe alibazikiriza.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes